Bya Samuel Ssebuliba.
Abantu basatu kikakasiddwa nga bwebafudde, nga kino kidiridde akabenje akuggwa wano e kalandazzi ku luguudo olugatta Kampala ku Masaka.
Kano akabenje okugwawo kidiridde emotoka ekika kya taxi number UBE 689B ebadde eva e Masaka okwabika omupiira okukakana nga yerindigudde enume y’ekigwo mu luguudo wakati.
Twogedeko naayogerera police y’ebiduka Charles Ssebambulide natubuulira nti emotoka eno ebademu abantu 14, mukaaga kubbo nebatwalibwa mu dwaliro e Nkozi, kyoka bewayise akabanga 3 kubbo bafudde.
Ono agamba kubafudde kuliko abasajja 2 nomukyala 1, songa abalala abasigadde banyiga biwundu.