Bya Samuel Ssebuliba.
Abantu basatu bebasirikidde mu kabenje, akagudde ku kyalo Kakatunda ku luguudo lwe Kabale-Mbarara, mu Bugwanjuba bwe gwanga.
Akabenje kano kabaddemu Taxi number UBA 274/U ne Raum namba UAU 460/W.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu tundutundu lya Kigezi, Elli Matte omugoba wa taxi ategerekese nga Ronald Gumoshabe yayingiridde owa Raum bwenyi ku bwenyi.
Abantu 3 bebafiridde mu kabenje kano, nga babiri kubano babade banjo emu.