Bya samuel ssebuliba.
Government ya gwanga Rwanda esazewo okuwera enyama n’ebirara byonna ebiva mubisolo kko n’ebinyonyi ebiva mu South Africa nga kino kivudde ku kirwadde ekyalumba egwanga lino.
Ekiwandiiko ekivudde mu ministry ekola ku by’obulunzi kirambise nga okuwera kuno bwekukoleddwa okugema okusasaana kw’ekirwadde kino mu Rwanda.
Mukaseera kano ekirwadde kino kyakatta ebisolo 60, songa Rwanda egula enyama eweze tani 2.4 okuva mu south Africa buli mwezi.