Bya Malik Fahad.
Mu district ye Kyotera abatuuze bali ku bukenke , nga kino kidiridde embogo okukulumba ekitundu kino.
Ebimu kubifo ebikyasinze okukosebwa kuliko Nakatoke mu gombolola ye Kijonjo .
Abatuuze bagamba nti embogo zino ziyinza okuba nga zaduse mu kuumiro ly’ebisolo elya Mburo national mu district ye Kiruhura .
Bano bagamba nti embogo zino zimazeewo ebirime byonna- kyebagamba nti kyandibatwala mu njala enkambwe
Ayogerera Police yeeno Lameck Kigozi agamba nti batandise okunonyereza ku nsonga eno.