Bya Damali Mukhaye
Ab’ekibiina kya FDC bambalidde poliisi ku bigambibwa nti baatuugunya abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi nga n’abamu baategeeza nti baabayisa paasi eyokya ku lususu.
Nga ayogerako eri bannaamwulire olwaleero ku kitebe ky’ekibiina e Najjanakumbi, omwogezi w’ekibiina Ibrahim Nganda ategezezza nti yadde omuntu aba avunanibwa omusango gwonna, teri tteeka likkiriza kumutulugunya .
Agamba nti yadde nga poliisi bino byonna ezze beyegaana, kyeraga lwatu nti abantu bano baatulugunyiaibwa kubanga baakwatibwa bali mu mbeera nnungi naye baagenze okujja mu kkooti nga embeera yaabwe eyingula ezziga.
Nganda agamba baayogeraganyizza dda n’abenganda z’abantu bano era n’asaba ne kkooti okukomya okusindika abakwate ku alimanda e Nalufenya kubanga kano kattiro kenyini.
Wabula ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye bino byonna abisambajja nti era bano baakwatibwa balina ebisago byabwe baleme kwekwasa.