Poliisi ye Naggalama mu disitulikiti ye Mukono eggalidde omukyala Rosemary Nampiima ow’emyaka 67 lwakugaba mwana mu kika ekikyaamu.
Kino kiddiridde omusajja Joseph Mubiru okubanja omukyala ono amuwe omwana we Rachael Nabumba atemera mu myaka 28, wabula ye byonna ng’abyegaana nti omwana yamuzaala muba Fumbe ewomugenzi Damasiko Nkulambi.
Enkayaana zino zibadde zitutte emyaka ku kyalo Nakanyonyi mu gombolola ye Nabbaale ng’omukyala Nampiima agamba tayinza kuzaalira Mubiru omwavu era omutamiivu w’okukyalo, ekyawaliriza poliisi okubiyingiramu nebagenda bakebeze endaga butonde oba DNA.
Ebyavudde mu DNA byalaze nti omwana wa Mubiru wabula omukyala ono n’agaana okubikiriza.
Atwala poliisi ye Naggalama Afande Kinyera ategeezezza nti omukyala ono bamuggalidde kuba babadde nga bekobaana n’omwana Rachael Nabumba eyasika okutunda eby’obugagga by’omugenzi, n’ategeeza nti kino kibadde nga kimenya mateeka okutunda ebintu byekika ekitali kyabwe.