
Mu kibuga Nairobi wano ku miliraano mu Kenya kissa kinegula nga abaayo balindirira omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama asuubirwa mu essaawa yonna.
Tukitegeddeko nga Obama bw’asimbudde okuva mu Amerika nga kati ali mu kkubo.
Ebyo nga bikyali bityo okusinziira ku lupapula lwa e Standard News Paper, obupiira bu kalimpitawa obusoba mu 14000 bwagabiddwa eri banansi okwekuuma.
Bbo bamalaaya mu kibuga Nairobi bali ku mudido nga baapangisizza dda ebisenge mu woteeri ez’ebbeeyi nga balinda bakasitooma babawe ku ssanyu.
Zo kampuni ensogozi z’omwenge zigusunze kumpi kugumala mu masogorero anti buli w’oyita mu kibuga Nairobi nkangaali y’ekwaniriza.
Wabula yadde nga gavumenti teyalangiridde mu butongole nti luno lunaku lukulu, bannakibuga mu Nairobi basabiddwa obutagenda kukola nga n’abaaana b’amassomero ssibakusoma olwaleero.