
Omubaka wa municipaali ye Soroti Capt Mike Mukula yegasse kw’abo abagaala obukulembeze mu kibiina kya NRM.
Mukula amaze okujjayo foomu okwesimbawo ku bwa ssentebe bw’ekitundu ky’obuvanjuba mu kibiina kya NRM.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okujjayo foomu, Mukula agambye nti ky’ayagala kwekusigaza akasubbaawa k’ekibiina kya NRM nga kaaka mu buvanjuba.
Ono agambye nti musanyufu nti yoomu ku baalwanyisa abalwanyi ba Arrow boys ekyaleeta emirembe mu buvanjuba era nga kati ekikulu kukuuma mirembe gino.
Ku ntandikwa y’omwaka guno, Mukula yalangirira nga bweyali tadda kukiika mu palamenti gy’abadde okumala kati myaka 20.