Skip to content Skip to footer

Uganda yakutwala abakozi ebweru

File Photo: Muluri mukasa nga yogeera
File Photo: Muluri mukasa nga yogeera

Gavumenti essizza emikono ku ndagaano ne gavumenti ya Saudi Arabia egenda okukozesa bannayuganda ng’abakozi b’awaka.

Gyebuvuddeko, gavumenti yakitongoza okutwaala bannayuganda okukola emirimu egitali gimu nga kati bano bagenda mu Saudi Arabia

Minisita akola ku nsonga z’abakozi Muluuri Mukasa  agambye nti endagaano eno yakutandika okukola mu mwezi gw’omwenda bannayuganda webanatandikira okukola.

Mu bimu ku biri mu ndagaano mwemuli ekya buli munnayuganda nti wakufuna emitwalo 60 buli mwezi ze doola 200 , teri kubajjako paasipoota, era nga bakujjanjabwanga nga balwadde.

Muruuli agambye nti kati kkampuni mu Saudi Arabia , kkampuni zonna ezeetaga abakozi zakuwandiikiranga gavumenti mu butongole.

Mu kadde kano Uganda erina abakozi obkadde 12 nga ku bano obukadde 4 bokka beebalina emirimu.

Leave a comment

0.0/5