
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti mwetegefu okutuula ku meeza ateese n’abo b’atalima nabo kambugu ku lw’ekibiina kino.
Ng’ayogerako eri bannakibiina mu kuggulawo ttabamiruka e Katoomi Garuga, Mao agambye nti ekigendererwa kye kugatta bannakibiina era buli awagira kino ayanirizibwa
Mao yetondedde abo bonna b’alinnyeeko n’ategeeza nti keekadde okugenda mu maaso.
Ttabamiruka we Katoomi agenda mu maaso nga n’ekibinja kya Loodimeeya Erias Lukwago kigenda mu maaso n’okutalaaga ebitundu bye Luweero oluvanyuma lw’enteseganya okugwa obutaka
Lukwago ne banne baatuuse dda e Luweero ng’eno amaze n’okuggulawo ofiisi za DP.
Lukwago mu kwogerako eri bannakibiina agambye nti ekimututte e Luweero kuzuukusa kibiina okutwala obuyinza