
Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga eri kumuyiggo gw’omuvubuka Joseph Okecha owokukyalo Kawuku mu gombolola ye Busaana eyatekedde enyumba ya muganda we omuliro, mukyalawe nabaana babiri nebasirikkiramu.
Kitegezeddwa nti Okecha okwokya mugandawe Obore Chalis kivude ku nkayana zetakka zebabade nazo okuva kitabwe eyaffa emyaka esatu egiyise bweyabagaba nyizamu buli omu kyoka Obore natunda ekitundu kye nagenda okusuubula e South Sudan nti kyoka bwebyaganyi nakomawo nasaba mugandawe amuweko awantu azimbe ekintu Obere kyeyagaanyi newabalukawo oluyombo kasigu.
Kino kiviiliddeko Okecha okusalawo nalabiriza nga mugandawe ne mukyala we Namande Judith wamu nabaanabe babiri okuli Achiere Jalia owemyaka 9 ne Atwaro Margrert owe 5 nga bali munju nagitekera omuliro nebasirikiramu.
Sentebe wekalo kino ekye Kawuku Kanisuku Francis ategezeza nti abadukirize webatukidde okutaasa abagenzi ngomuliro gulanze nyo nga nabagenzi bafuuse bisiriza wamu nebintu byomunju byona.