
Omulambo gw’omuyizi wa yunivasite UCU guzuliddwa mu kidiba ekiwugirwamu mu kiffo ekisanyukirwamu ekya Big Fan Entertainment wali e Boma mu disitulikiti ye Mbarara.
atwala okunonyereza ku misango ku poliisi ye Mbarara Taban Chiriga ategezezza nga engoye z’omugenzi wamu ne wallet omubadde ebifananyi bya muganzi we bitwaliddwa ku poliisi omuyizi ku yunivasite ya Bishop Stuart University David Agaba.
Okunonyereza okusoose kulaze ngomugenzi bweyabuze akawungezi akayise.
Chiriga agamba omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara okwongera okwekebejebwa.