Skip to content Skip to footer

Poliisi ekyasirise ku bya Aine

Aine appears

N’okutuusa kati poliisi teyanukula ku nsonga z’eyali akulira abakuumi ba Amama Mbabazi Christopher Aine bweyazzemu okulabika oluvanyuma lw’ebbanga nga abuze.

Aine olunaku olw’eggulo y’alabise nga ali ne Muganda wa pulezidenti Museveni Gen Salim Saleh n’ategeeza nga bw’abadde yekukumye mu ggwanga lya Tanzania.

Aine y’afuuka ensonga mu ggwanga bweyabulawo mu biseera bya kampeyini nga abamu bagamba y’afa dda oluvanyuma lw’ekifananyi ekyafuluma nga kilagira ddala Aine omufu.

Wabula ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba bbo tebamanyi ku bya Aine kuddamu kulabika kubanga bakyamuyigga okumuvunana emisango gy’okutabangula emirembe e Ntungamo.

Gyebuvuddeko poliisi Aine y’amutekako obukadde 20 eri yenna alina amawulire agamukwatako era ebipande bye byatimbibwa okwetolola eggwanga nga bamuyigga.

Leave a comment

0.0/5