Bya Getrude Mutyaba.
E Kyotera Police eri ku muyiggo gw’abasibe e 14 abatolose mu kaduukulu ka poliisi .
Abasibe abaatolose kigambibwa nti baabadde ku misango gya kukwata bwana buto,kutulugunya,kubba saako n’okufuweta enjaga.
Omusirikale atayagadde kwaatuukiriza mannyage agamba nti bano baasimye ekituli mu kisenge ky’akaduukulu nebatolokoka.
Twogedeko n’akulira poliisi ye Kyotera Godfrey Babaranda naagamba nti okutoloka kwabano kwavude ku basirikale abatono bebalina n’ebizimbe ebinafu ennyo.
Kati bano bano si beebasibe abasoose okutoloka mu kaduukulu kano nga negyebuvuddeko,amyuka akulira abakozi be Kyotera Yasin Mayanja yatoloka,Pastor William Muwanguzi amanyiddwa nga pastor Kiwedde naye yatolokako mu kaduukulu keekamu mu 2016, songa n’emasaka abasibe 4 bakaduka mu kooti