Bya Ruth Anderah.
Abalamuzi 6 abagenda okutuula mu kooti y’ensi yonna olwaleero lwebagenda okulayizibwa , nga kuno kwekuli ne munayuganda omukyala Solomy Balungi Bossa nga guno mukulo guli mu Hague ekya Netherlands.
Abalamuzi abalala abagenda okulayizibwa kwekuli Luz del Carmen avude mu -Peru, Tomoko Akane avudde mu -Japan, Reine Alapini avudde mu Benin, Kimberly Prost avude mu Canada ko ne Rosario Salvatore owa Italy.
Kati bano bagenda kutuuka mu kooti eno kukisanja kya myaka mwenda okutandika leero
Justice Bossa wano mu uganda yakolako mu kooti enkulu okumala akabanga, naagenda mu kooti ejulirirwamu,yagendako mu kooti ya Africa ekola ku dembe ly’obuntu , kale nga kati yegasse kumunnayuganda omulala Justice Julia Sebutinde nga ono akola mu kooti y’ekibiina ky’amawanga amagatte eya International Court of Justice okuva mu mwaka 2012.