Bya Sam Sseabuliba
Abatuula ku kakiiko akataba abakyala mu gwanga aka women council basabye omukulembeze we gwanga okuteeka amaanyi mu kunonyereza ku kitta bakyala, n’okuwamba abantu okugenda mu maaso mu gwanga.
Bwabade asoma obubaka obuvude mu kakiiko kano, omubaka Asamo Hellen Grace, akikirira abantu abaliko obulemu ku mibiri agambye nti abakyala bangi bazze batibwa, wabulanga mpaawo ayamba, nga ekyamangu kyetagisa okukolebwa.
Ono agamba nti mu kawefube owokusitula omukuyala ow’omukyalo, ngomulamwa gwomwaka guno bweguli gavumenti egwana ekendeeza ku misolo egigibwa ku bakyala abakola bu obulimu obutonotono, nadala abataweza capital wa mitwalo 20.
Ono agamba nti business ezaba nakolera gyange ezisinga ebitundu 40% zikolebwa bakyala, wabula banyigirizibwa emisolo, nga betaaga kuyambibwa.
Wabula omukulembeze we gwanga bwabadde ayanukula ku, kwemulugunya kuno Presidenti Museveni agambye asabye aba gavumenti ezebitundu, obutasolooza abakyala abatambeeya ebyokulya kubanga banaku.
Agambye nti okulooza abakoppi, kuba kweretako kikolimo.