
Kkampuni y’enyonyi eya British Airways yakulekera awo okusaabaaza abantu abagenda ku kisaawe kya Heathrow, London okuva Entebbe.
Kino kikoleddwa kubanga asala abadde asusse ng’abatambula batono.
Ekiwandiiko ekivudde mu kkampuni ya British Airways kiraze nti okusaabaza abagenda mu London kwakukoma mu October w’omwaka guno.
Kkampuni eno ennyonyi zaayo zibadde zigenda ku kisaawe kino emirundi ena mu wiiki era nga kino ekikoze okumala emyaka 24 oluvanyuma lw’okutandika okusabaaza abantu mu mwaka gwa 1991.
Eno kkampuni ya kubiri ng’eyimiriza entambula y’enyonyi zaayo mu Uganda nga Air Uganda yeeyasooka okuyimiriza buli kimu mu mwaka gwa 2014.