
Omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama ategeezezza omukutu gwa BBC nga bw’ajja okufuba okukakasa bannakenya nti kikyaamu okuboola abalya ebisiyaga
Obama agambye nti takkiririza mu kuboola kwonna okwesigamye ku kikula ky’omuntu oba langi kale nga nebano wakubamatiza
Obama bino abyogedde asitula okwolekera Kenya ng’eno gy’azaalibwa.
Okukyala kwa Obama era kutunuuliddwa ng’okugendereddemu okulaga obumaliririvu bwa Amerika okulwanyisa obutujju mu mawanga ga east Africa.