Poliisi ekyayiiriddwa mu maka g’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi eyatemuddwa wali e Kiwatule.
Abaserikale ba poliisi bebakuuma geeti nga era tebakkiriza munnamawulire yenna kuyingira munda.
Abamu ku baserikale abatayagadde kwatulwa manya bategezezza nga ab’enyumba bwebasabye baleme kukkiriza munnamawulire yenna munda bafune akaseera okukungubaga.
Wabula bbo abakungubazi abalala bakkirizibwa okuyingira.
Omulambo gw’omugenzi gugiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago negutwalibwa e Kiwatule ewakumiddwa olumbe.
Olunaku olwenkya omugenzi wakusabirwa mu kanisa ya St Luke e Ntinda oluvanyuma atwalibwe ku bijja byabajajjabe ku kyalo Bukasa ku lw’emityana gy’agenda okuziikibwa.
Kagezi yakubiddwa amasasi abatemu abatanategerekeka abaabadde batambulira ku pikipiki e Kiwatule.