Skip to content Skip to footer

Uganda eweddemu ekirwadde kya Marburg

Ebola

Uganda eweddemu ekirwadde kyaMarburg.

Minisita omubeezi akola ku byobulamu  Sarah Opendi y’alangiridde bwati mu lukiiko lwa bannamawulire olukubiddwa ku kitebe kya gavumenti ekya Mawulire ekya Media center.

Opendi agambye nti obulwadde buno busobodde okubutaayiza era nga buwereddewo ddala

Obulwadde buno kyalangirirwa nti bulumbye eggwanga nga 4 omwezi gwa October oluvanyuma lw’omulwadde okufa mu ddwaliro e Mengo

Mu kaseera obulwadde buno webwabalukirawo, abantu 997 beebalondoolwa okutuuka bonna lwebaweddewo.

Wabula Opendi asabye abantu okusigala nga begendereza nga bayita mu kunaaba engalo okwewala ekirwadde kino okukomawo.

Leave a comment

0.0/5