
Kooti enkulu yali eyimirizza kooti yamagye obutagenda maaso okutuusa ngomusango Ssejusa gweyawaaba nga awakanya okumulemeza mu magye sso nga y’asaba okuwumula
Amakya ga leero Sejusa aleteddwa mu kkooti yamagye e Makindye ngekubirizibwa ssentebbe waayo Maj Gen. Levy Karuhanga.
Ssejusa enfunda ziwezeeko nga ammibwa okweyimirirwa mu kooti gyaweremba nemisango gyobujeemu saako okwetaba mu byobufuzi ne kyekubira omusango ogwa Namunkulu mu mateeka gamagye.
Bannamateeka ba Ssejusa bawaddeyo ekiragiro kya Court enkulu mu butongole nga eyalagidde obutaddamu kuwozesa Muntu waabwe.