Skip to content Skip to footer

Omusajja asobezza ku kiggala

File Photo: Police nga ekola ogwayo
File Photo: Police nga ekola ogwayo

Poliisi ye Kitebi etasizza omusajja kaggwa ensonyi eyakkakkanye ku mwana kiggala ow’emyaka 13 n’amusobyako.

Jimmy Kalyango 34 omutuuze we Kabowa mu zooni ya Sembule B yeyakwatidwa omutuuze eyawulidde amaloboozi mukiyumba agalajaana era wano n’ayita abatuuze abamukubye ensamba ggere n’empi nga poliisi ye kitebi yeyamutasizza.

Akulira ba mbega ku poliisi ye Kitebi Francis Kateega yakakazizza okwatibwa kwa ssedduvutto ono era nekikakasibwa nti yabadde asobezza kumwana ono.

Kati bamulinda kudda ngulu nga bwebakyanonya omutaputa woluliimi lwa kigala olwa Kalyango atwalibwe mu kkooti avunanibwe ogwokusobya kumwana atanetuuka oguli kufayiro SD

Leave a comment

0.0/5