Skip to content Skip to footer

Emisango gy’okusobya ku baana gyeyongedde

ssPoliisi mu bitundu bya Bukedi eri mu kutya olw’omuzze gw’okusobya ku baana abatanetuuka  ogweyongedde.

Okusinziira ku alipoota ya police empya , abaana 319 bebasobozeddwako mu bitundu bya Bukedi ebyenjawulo wakati wa December omwaka oguwedde nogwokubiri omwaka guno.

Emisango gyabaana emitwalo  9 mu disitulikiti 112 gyafunika mu December ate 112 okuva mu January okutuuka mu gokubiri omwaka guno.

Ayogerera poliisi mu tundutundu lya Bukedi Sowali Kamulya kino akitadde ku bwavu obusukiridde mu kitundu, ettamiiiro erisukiridde wamu nabazadde abalemeddwa okutwala abaana baabwe ku masomero.

Ono ategezezza nti nebiragalalagala bingi atemga abaana abatto bangi abatandise okubyettanira olwo nebononeka okufuuka ebintuntu.

Poliisi enokoddeyo didtrict ye Pallisa nge yesingamu omuzze gwokusobya ku baana neddirirwa Butaleja ne Tororo.

Leave a comment

0.0/5