Skip to content Skip to footer

Katikiro awabudde ku dembe ly’obuntu

 

Katikkiro listensKatikiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asabye ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu biveeyo bitapute amateeka agakwata ku ddembe lyobuntu eri abantu babulijjo.

Kattikiro agambye nti kino kyakuyamba abantu babulijjo okulwanirira eddemba lyabwe buli werinabanga lirinnyiriddwa.

Ategezezza nti bannayuganda obukadde 22 bogera Luganda kalenga  amateeka mangi gagwana okuzzibwa mu lulimi abantu lwebategeera.

Agambye abantu basanye era basiime nebibiina byobwanakyewa anti bakola omulimi ogutabusibwa mu kutumbula eddembe lyabannansi.

Katikiro okwogera bino abadde atongoza katabo akabalwanirizi be Ddembe Lyobuntu akawandikiddwa omukungu wekibiina kyamawanga amagatte Margret

Leave a comment

0.0/5