Kkooti e Kasangati etaddewo olwa Bbalaza wiiki ejja okuwa ennamula yaayo mu musango gwa Dr. Kizza Besigye, mwawakanyza okumuggalira ewuwe.
Besigye yaddukira mu kooti nawawabira Ssabapoliisi Ge. Kalekaihura, omuddunmizzi wa poliisi e Kasanagati James Kawalya ngawakanaya ekyokumukumira mu maka ge nti kuno kulinyirirra ddemebe lyabwe.
Yye nno Omuworereza wa gavumenti Caroline Nabaasa asabye omulamuzi Prosy Katushabe ali mu musango guno ayagala gugobwe nti Besigye yawawabira bantu bakyamu yalina kuwabira Ssabwprerza wa gavumenti anti ebiragiro byona poliisi byewa ebikola kulwa gavumenti.
Wabula ye munnamateeka wa Besigye David Mpanga kino akiwakanayizza nti ekikulu ekikolebwa kimenya mateeka.
