
Poliisi ye Palisa etegezezza nga bw’ezudde ekyuma kyakakiiko k’ebyokulonda ekya ekya BVV ekibadde kyabula.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya Bukedi Sowali Kamulya ategezezza nti ekyuma kino kyasangigiddwa mu Kabuga ke Butebo okumpi ne poliisi.
Ono atubulidde nti ekyuma kino kyabula wiiki ewedde ekyavirako okukwata abakungu bakakiiko kebyokulonda 5 nga kiteberezebwa balina ekkobaane okukibba nekigendererwa ekitanategerekeka.
Wabula ono agambye waddenga bakifunye bbo abakwate ssi bakuyimbulwa nga nokunonyereza kukyagenda maaso.