Bya Samuel ssebuliba.
Eyali akulira police ye Buyende, Muhammad kirumira atabukidde baserikale banne wali ku kitebe kya police e Naguru bwebabade bagezaako okugaana banamawulire okubaawo nga kooti emutyemulira omisango.
Leeri kooti eno lw’ebadde erina okusala emisango egirudde nga givunanibwa Kirumira, okuli okusiiwuka empisa , okutulugunya abantu ko n’ebirara, kyoka banamawulire olutuuse kooti nebagobaganya, ekinyiizizza kirumira
Kati wano kirumira akaaye , n’alagira banamawulire okumwegatako, era alabye police teseguka eby’omusango nabyesonyiwa.
Yye ayigerara police Emilian Kayima agambye nti ebyokugaana banamawulire okugenda mu kooti tabimanyiiko.