
Abatuuze be Kalungu abakoseddwa amataba kyaddaaki baddukiriddwa n’obuyambi bafune webegeka oluba.
Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya basigala tebalina webegeka luba olw’amayumba gaabwe kumpi kubuliramu.
Abatuuze abaasinze okukosebwa kuliko abokumwalo gwe Kamuwunga n’abalala.
Kati bano bawereddwa ebintu nga emmere omubadde ensawo z’akawunga, obutimba bwensiri , amabaati seminti n’ebirala.
Ssentebe wa tawuni ye Kalungu Gerald Majera Kikyamu, asanyukidde ekikoleddwa omubaka w’ekitndu kino mu palamenti Vincent Ssempijja olw’obuyambi buno.
Wabula ssempijja asabye abantu naddala abakyala b’embuto okukozesa obulungi obutimba buno baleme kubuvubisa ngege.