Skip to content Skip to footer

Kkooti ewabuddwa ku bavunanibwa okutega bbomu

aba bbomuAbawabuzi ba kkooti 2 bawadde endowooza zaabwe eri omulamuzi wa kkooti enkulu Afolse Owinyi Dolo ku musango gw’abantu 13 abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 wano mu Kampala  nezitta abasoba mu 70.

 

Robert Lubega Sseguya awabudde 12 baabsingise emisango gy’obutemu obutujju n’okuyambako  mu butujju wabula nga ayagala omulala Muzafaru Luyima bamwejereze .

 

Ye  Juliet Kasendwa Aligawesa  omulamuzi amuwadde amagezi 11 b’aba asingisa emisango gino wabula era munnayuganda Muzafaru Luyima bamwejereze ne munnakenya yahaya sulaiman mbuphia.

 

Agamba oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta obujulizi obulumika ababiri bano.

 

Kati omulamuzi ataddewo olwa nga 18 May kw’agenda okuweera ensalaye.

 

13 bano bavunannibwa okwetaba mu kutega bbomu wali ku Kyaddondo Rugby grounds ne ku Ethiopian Village e Kabalagala nga era kuliko bannakenya 7, bannayuganda 5 n’omutanzania omu.

 

 

Leave a comment

0.0/5