
Akakiiko ku ttendekero ekkulu e Makerere akatekeddwawo okunonyereza ku mbiranye wakati wa Dr Stella Nyanzi eyeyambudde nga yekalakaasa ne kakensa Mahmood Mamdani katandise egyako olwaleero.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Professor Dumba Ssentamu, abanonyereza bakulemberwamu David Bakibinga okuva mu ssomero ly’ebyamateeka nga era bakuvaayo ne alipoota ku lwokutaano luno nga 22 etesebweko olukiiko olutwala yunivasite eno.
Ku byebagenda okunonyerezaako kuliko ani yayingiridde emirimu gyamunne wamu n’ebigambibwa nti ofiisi ezimu zikolerwamu abatali bakozi be Makerere.
Era nno mungeri yeemu professor Dumba yeganye ebigambibwa nti akozesa mukyala nyanzi okulwana Prof Mamdani.