
Poliisi etukizza okunonyereza kwayo ku basajja abekapika obukookolo nebawewenyula bannakampala kibooko awatali agamba.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba abaserikale bonna abali mu kuwerekera Besigye abawagizi be nebabakuba kibooko bawadde sitetimenti zaabwe eri akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa okumanya ekyagenda mu maaso.
Agamba baagala kumanya oba poliisi abaali bambadde ebidugavu bapangisibwa poliisi okugiyambako oba bamenyi b’amateeka.
Mungeri yeemu poliisi ekyekeneneya obutambi okumanya ebikwata ku bakubi ba kibooko bano.