Bya Magembe Ssabiiti
Omulabirizi e Mityana Dr Stephen Kazimba Mugalu asabye ababaka ba palamenti okubeera abegendereza nga bakyusa
ssemateeka we gwanga naddala akawayiro 102/b akalubiridde okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga 75.
Omulabirizi Kazimba Mugalu asinzidde mu
busabadinconi bwe Kasenyi mu busumba bwa Kirungi e Mubende bwabadde alambula emirimu egikolebwa abakulisitayo, nasaba nti abantu babulijjo bagwana okwebuzibwako ekimala.
Kunsonga ya gavumenti okutwala ettaka lya banansi nga tesoose kubasasula, agambye nti kikyamu ekiyinza okutabangula emirembe mu gwanga.