Skip to content Skip to footer

Lokodo alagidde omusomesa we Makerere eyeyembudde akwatibwe

Lokodo 4
File Photo: Father Simon Lokodo

Minisita w’empisa n’obuntubulamu Father Simon  Lokodo alagidde omukenkufu wa yunivasite ye Makerere eyeyambudde nga yekalakaasa akwatibwe.

Dr. Stella Nyanzi akedde kweyambulamu ngoye nga awakanya eky’akulira ebyokunonyereza ku yunivasite eno Professor Mahmoud Mamdam Nyanzi okuggalawo ofiisi ye .

Lokodo agamba yadde nga omukyala agamba abadde atulugunyizibwa , yandilaze okwemulugunya kwe mu ngeri endala sso ssi kweyambulamu ngoye.

Lokodo agamba omukyala ono asasanyizza obuseegu kale nga asaana okukangavvulwa nga amateeka bwegalagira.

Lokodo agamba wabula bakusooka kukakasa oba ddala mukyala Nyanzi omutwe gwe gukola bulungi nga tebanamuggulako musango gwonna.

 

Wabula Dr Nyanzi teyeyambulidde bwerere oluvanyuma lw’abakulira ssetendekero ono okuggulawo ofiisi ye.

Ofiisi eno eguddwawo akulira essomero lya Social Sciences professor Edward Kirumira Nyanzi gy’atuula.

Leave a comment

0.0/5