Omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake nabakenuzi Margaret Tibulya, agaanye okuwa mukayala womusubuzi SK Mbuga okweyimirirwa.
Angellah Chebet avunanibwa misango gya bufere, nokwetaba amu buguzi nobutunzi, obwokoza amu ssente mungeri meenya amateeka, nalyoka afuna obuwumbi 20 mu lukujjukujju.
Chebet abadde aleese abanatu 5 okumweyimirirwa okuli kizbwe bwe, taata we omuto, mukulu we ne mikwanao gye 2.
Wabula aomulamuzi agambye nti abanatu bano tebatukiridde, kubanaga abamu balimi, abalala bakola lejjalejja, basubuzi abatsobola kuzza ssente obuwumbi 20, zeyafera ssinga anadduka, nadda mu kooti.
Omulamuzi Tibulya era agambye nti ono alina nebyafaayo byokwebulanakanya, natadda mu kooti, nga bweyakikola mu gwanga lya Sweden.
Kati alagidde nti azibweyo mu kkomera e Luzira, nga wakukomawo nga March 27th omusango gwe lwegunaddamu okusomebwa.