Bya Ivan Ssenabulya ne Gertrude Mutyaba
Poliisi mu district ye Kwen ebakanye nomuyiggo ku bakuumi 3, abekitongole kya Uganda Wildlife Authority, bagambibwa nti basse omusajja gwebasaze mu kibira ngatema emiti.
Bino byabadde mu kibira kye Kupkwata ekisangibwa mu district ye Kwen, oluvanyuma lwokutta omusajja ono, bakuttemu ebyanguwa nebeyokya ettale.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi, Rogers Titika omugenzi ye Boy Alfred ngabadde aweza emyaka 32.
Ate bannamagye aba UPDF nga bali wamu n’abavunaanyizibwa ku bibira mu bitundu bya Masaka batandise kaweefube w’okusengula abantu abeesenza ku ttaka lye bibira, nga batandikidde mu Municipali ye Masaka.
Ebikwekweto bitandikidde mu kibira kya Kumbu ekisangibwa ku njegoyego z’ekibuga Masaka.
Kati eno abatuuze bakukulumye nti ebintu byabwe bingi ebyononeddwa, era balumirizza abakulu abao benyini okutemanga emiti mu bibira, ate abanaku nebabagobaganya.
Avunaanyizibwa ku bibira mu district ye Masaka Mildred Nafuna agamba nti omuze gw’okwesenza ku ttaka lye bibira gwafuuka baana baliwo, nga kyebavudde basitukiramu.