Bya Prossy Kisakye,
Ssaabajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Il ne Nnabagereka Sylvia Nagginda bagasse ku bakulembeze abalala ne bagemwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kabaka agemeddwa mu lubiri lwe e Banda, abasawo bakulembedwamu Dr Simon Luzige okuva ku ddwaliro e Nakasero.
Mu bubakabwe obumusomeddwa maama Nnabagereka, Kabaka akubiriza obuganda okwetanira entekateeka eno bagende bagemwe basobole okubeera abalamu okuva eri ekirwadde kya covid-19