Skip to content Skip to footer

Oyo takuziza mazaalibwage lwa kirwadde kya Covid-19

Bya Rita Kemigisa,

Omukama wé Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru asazizaamu ebikujjuko eby’okujaguza amazaalibwa g’e emyaka 29

Okusinzira ku minisita wobwakabaka avunanyizibwa ku bya mawulire Charles Mwanguhya, kino bakikoze okugondera ebiragiro mu kulwanyisa ekirwadde kya covid19

Atuusiza nobubaka bwomukama nagamba nti awadde amagezi bannauganda okwerinda ekirwadde kya ssenyiga omukambwe nga bagoberera ebiragiro ebyatekebwawo

Mungeri yemu omukama ajjukiza abantube okwekuuma akawuka ka mukenenya ate nabakubiriza okukola enyo.

Leave a comment

0.0/5