Skip to content Skip to footer

Yesimidde entaana

Omusibe asimye entaana

Waliwo akatambi akafulumye okuva mu ggwanga lya Syria ng’abakambwe ba Islamic State bakaka omusibe okusima entaana mw’abadde agenda okuziikibwa

Omusajja ono abadde mu yunifoomu y’abasibe eya kipapaali alabibwa mu katambi ng’akwata ensuluulu, enkumbi n’ekitiiyo okusimba entaana ye.

Abakambwe bano olumaze nebamusalako omutwe nebamukasuka mu ntaana esimiddwa olwo nebeyongerayo

Nga tebannamusalako mutwe, basoose kumulagira akufamire mu maaso g’entaana olwo n’akkiriza nga bw’abadde omuzzi w’emisango ng’abega abakambwe bano

Leave a comment

0.0/5