Skip to content Skip to footer

Eyegadanga ne Muzzukulu we asibiddwa emyaka 25

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi asindise ssemaka mu nkomyo amaleyo emyaka 25, olwokukira muzzukulu we okwegadanga naye.

Leevi Wandega owemyaka 65 omutuuze w’e Kanyogoga mu gombolola ye Naggojje e Mukono kigambibwa nti yakabawaza muzzukulu we owemyaka 8.

Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulemberwamu Janat kitimbo omusango Wandega yaguzza mu June wa 2011.

Omwana ono yali yamuweebwa oluvanyuma lwabazadde be okufa.

Omulamuzi Mutonyi agambye nti ekyokukwata abaana abato mu kitundu kyatwala kisusse ngabaana bangi eddembe lyabwe lityoboleddwa.

Asabye poliisi n’ekitongle kya gavumenti ekiwaabi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku misango nga gino okusaawo obwenaknya.

Leave a comment

0.0/5