Bya Ivan Ssenabulya
Waliwo maama azirikidde mu kooti e Mukono omusajja eyamukwatira omwana bwakkirizza nti ddala omusango yaguzza wabula nasaba ekisonyiwo.
Maama ategerekese nga Nalumansi Christine owe Kibubbu mu gombolola y’e Kawolo mu district y’e Buikwe abadde amaze emyaka 6 ngalepuka nomusango.
Wabula omuvunanwa Mulo Musa muliranwa we bwakirizza nti omusango yaguzza omukazi nagwamu amanyi nebamuyolayoola.
Omulamuzi wa kooti enkulu Margret Mutonyi awaliriziddwa okuwummuzaamu kooti.
Mulo Musa owemyak 63 nga Imam ku muzikiti gwe Kibubbu ategeezezza kooti nti sitani yamukema nga naye muzadde era alina abaana abato abamwetaaga awaka.
Mulo omulamuzi Mutonyi amuzizza mu kkomera okutuusa nga 9 omwezi ogujja lwalimutyemulira ekibonerezo.