Bya Getrude Mutyaba.
E masaka : Wabaddewo katemba ku court e Masaka abasibe babiri bwebabuuse okuva mu kaduukulu ka court , nga eno ebadde ekubirizibwa akulira court ento e Masaka Samuel Munobe gy’abadde akubiriza.
Abasibe abatolose kubaddeko Musa Galiwango saako ne Muhammad Kiddawalime nga bano bavunaanibwa emisango egyanaggomola okuli egy’obutemu saako n’obubbi.
Omulamuzi Munobe atubuulidde nti nakati akyali mu kutya olw’ekikangabwa kino ekituuseewo nti kuba emyaka kati kumi nga ali mu kitongole ekiramuzi abadde takifuna ngako.
Bino webigyidde nga bakijambiya bazeemu okulumba ebyalo ebiri mu Kimaanya-Kyabakuza , era nga baasulide abatuuze ebibaluwa ebiraga nti bagenda kujja babateme .