Bya Paul Adude
Police ku mwalo gwe Kasenyi mu Town council ye Katabi Entebbe eriko omulambo gwezudde nga gubadde gukukusibwa ku kimotoka kika kya kabangali namba UAW 994/W.
Kino kidiridde abamu ku bavubi okubaguliza ku poliisi nti waliwo bebalabye nga baliko byebasiba mu kiveera nebateberezza nti yandiba omuntu.
Aberabiddeko bagambye nti ekigugu kino kijidde ku lyato nekitekebwa ku mmotoka eno ebadde etwala mukene.
Police oluvanyuma eyimirizza mmotoka eno nebajekebejja kwekugwa ku mulambo.
Bwabadde ayogerako ne banaffe Daily Monitor, omuddumizi wa poliisi Entebbe Mission Samuel akaksizza ekibaddewo.
Wabula agamba nti abantu ababdde batambuza omulambo guno, babadde nebiwandiiko ebibakirizza, okukola kino nga kiraga nti omugenzi yafa enfa eya bulijjo.
