Bya Ruth Anderah
Omwana omulenzi ow’emyaka 16 avunaniddwa natalibwa mu kkomera lyabaana e Naguru lwakusangibwa ne kamulali wa police.
Mubiru Abdul Rahman avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Patrick Talisuna neyegaana omusango gw’okusangibwa n’ebintu bya gavumenti.
Kigambibwa nti omwana ono nga February 21st 2018 e Kamwokya mu Kampala yasangibwa ne kamulali wa police ekimenya amateeka.
Wakudizibwa mu kkooti nga March 16th omusango gutandike okuwulirwa.