Skip to content Skip to footer

Ababbi b’agayinja balumbye Sembabule

sembabulePoliisi ye Sembabule eri ku muyiggo gw’ababbi abalumbye ekyalo ekirala nebakinyagulula.

 Abatuuze abasinze okukosebwa kuliko George William Muyimba gwebabbyeko obukadde bibiri mwemitwalo nsavu ne Sam Bbale Kasumba gwebanyazeko ensimbi eziwerako n’ebintu byomunyumba.

 

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Katimba , ababbi bano batyambula n’oguynza gwebaggunda ku nziji nebayingiza ekifuba nebanyagulula.

 

Mukasa kati agamba bali mu kutya olw’obubbi obusukkiridde mu kitundu.

 

Bino webijidde nga wakayita wiiki emu yokka nga ababbi abatanaba kutegerekeka kyebaggye balumbe ekyalo Kitagabana nebatta omuwanika w’ekeleziya yomukitundu.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi agamba bakyanonyereza nga tebanakwatayo muntu yenna.

Leave a comment

0.0/5