Skip to content Skip to footer

Poliisi ekutte 48 kubyekuusa ku butujju

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi eriko abantu 48 abalowozebwa okuba abatujju oluvanyuma lwobulumbaganyi ebwemirundi 2 obwakolebwako ne mufiiramu abantu 2.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ekikwekweto bano mwebabakwatidde kyatunulidde ebifo omusinga okuba abamenyi ba mateeka.

Enanga asabye bannauganda okwongera okubeera abegendereza ate batemye ku poliisi kukwekengera kwebabeera bafunye.

Leave a comment

0.0/5