Bya samuel Ssebuliba.
Wano mu Kampala,abakyala abaserikale okuva mu bitongole bya police byonna bakedde ku nguudo okulambika entambula y’ebiduka, nga ono yoomu ku kawefube ow’okukuza sabiiti enamba eyabakyala,ate olunaku lwenyini lukuzibwe nga 8th omwezi guno.
Kati bano leero bakedde kubuli nkulukungu, nga amakulu kulaga gwanga nti newankubade bakyala basobola okukola emirimo egisoomoza nga gino.
Twogedeko ne Clair Asasirwe nga ono muserikale wano ku CPS n’agamba nti balina bingi byebagenda okukola buli lunaku okutuusa nga 8th , era nga buli muserikale omukyala kimukakatako okulwenyigiramu butereevu.