Bya Magembe Ssabiti
Police e Mubende ekute omukazi Katusiime Christine owemyaka 42 eyatta bbawe Lugumayo Vicent ku ntandiikwa ya Week eno.
Ettemu lino lyaliwo ku Monday ya Week eno ku kyalo Kabalungi mu gombolola ye Nabingoola e Mubende Christine Katusiime bweyakuba baawe omuggo ku mutwe ogwamutta nga entabwe yava ku mmere.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Norbert Ochom akakasizza nga Christine bwagiddwa ku kyalo Kabalungi nga Kati agudwako omusango gw’okutta omuntu era nga wakutwalibwa mu kooti avunanibwe.