Bya Moses Kyeyune.
Parliament eragidde minisituleekola ku by’ensimbi mu bwangu dala okuvaayo enyonyole ebikwata ku teeka ekya mobile money eryakolebwamu enongosereza era neziyisibwa, kyoka nga nakaakano tezinatekebwa mu nkola.
Kinajukirwa nti mu October parliament yakendeeza ku musolo ogwa nusu 1% ogwali gutekeddwa ku mobile money negudda ku nusu 0.5 % wabula nakaakano enongosereza zino mpaawo amanyi kyezikola.
Kati kino kyekibagudde omubaka wa Nakaseke South Paul Luttamaguzi , nga agamba nti bannayuganda nakakano bakyali mukunyigirizibwa, kale nga ensonga eno egwana kukolebwako mu bwangu.
Mukwanukula sipiika wa parliament Rebecca Kadaga agambye nti minister akola by’ensimbi alina okujja ebeeko kyatangaaza.