Bya Ritah Kemigisa.
Government etegeezeza nga bwetegese okutandika okuwandiika abasibe bonna abali mu makomera bafune ne ndaga mundu.
Buno obweyamo buwereddwa minisita akola ku nsonga zomunda mu gwanga Obiga Kania bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akakola ku by’okwerinda.
Ono agambye nti mpaawo teeka libagaana kugaba ndaga Muntu eri bannayuganda bano abali mu makomera, kale nga bwebanamala okuwa abaana abato abali mu masomero ne bannayuganda abali e bunayira, ekidako kugenda kuba kufa kubano abali mu makomera.
Akulira eby’amakomera mu Uganda Johnson Byabasahijja agambye nti bagenda kutandika nakumanya abo abalina endaga muntu zebaaleka ewaka, olwo abataafunira dala batandike okukolebwako.