Bya Ben Jumbe.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye abakulembeze bane abali mu mukago gwa East Africa okugatira wamu amaanyi okulaba nga bakola ku mitawana gyonna egy’ebyobulamu egitawanya amawanga gano.
President okwogera bino abade wali e munyonyo mu lusirika lw’amawanga amagatte olugenda mu maaso, nagamba nti East Africa erina buli kalonda wa ndwadde, kale nga bagwana bakyuse ekizibu ky’endwadde ate bakikolemu ensimbi.
Ono agambye nti bagwana bakoppe ekyali mu gwanga lya India ely’asalawo okufuula ebizibu emikisa, okukakana nga batandise okukola edagala mwebajja ensimbi enyingi.
On agamba nti kati kumutendera guno East Africa egwana efeeyo nyo mukuzimba amakolero g’amalagala, ko n’ebirungi ebiyinza okukozesebwa mukukola edagala olwo endwadde ziwone, songa n’ensimbi tunoga.
